David Lutalo – Yankutudde Lyrics

David Lutalo - Yankutudde Lyrics
ad

New music alert from David Lutalo – Yankutudde Lyrics, audio mp3

David Lutalo comes through with a brand new song tagged “Yankutudde”.

Worth adding to your music playlist.

DOWNLOAD HERE

Listen & Share

David Lutalo – Yankutudde Lyrics

Omuntu gwe nasomosa
Ne bukumalamu obwo obuntu obutono
Nootakola bye wasuubiza, oh oh!
Amaziga ge nakungula
Gwe gwe nali manyi nti mazima tuliba bumu
Ppaka bwe tulikaddiwa, ooh!
Mazima naggya wa omwesigwa?
Oyo gwe mbuuliranga ebyama byange
Naatabibunya gy’ayita, eh eh!
Oyo atammaze kwegula
Gwe nalaganga gye ntereka ebyange
Naabulako kyabuza, eeh!
By’afuna bye batunuulira, eeh
Lwe biba bibuze nga batunula walala
Tebayagala bibasumbuwa, ooh!
Lwaki wanneefuulira?
Gwe eyaŋŋumyanga n’okaaba amaziga
Kulwa bali bye bankola, eeh!

Yakiyiye (yankutudde)
Tabirinako (eeh eh)
Yakyuse (yankutudde)
Yazize omulyo ooh
Yakiyiye eh (yankutudde)
Alaga tabirinako oh (eeh eh)
Namenyese (yankutudde)
Bino ssikyabiddako ooh

Emikwano kati gya kifere-re
Emitima mikalu kati gyereeze
Bwonna obwesigwa mu bantu bwagenze
Sitaani atuli ku migongo yeeweese
Baffe be batutugumbula
Oyo gw’olina owookumwanjo ddala
Abalabe y’abasaggula, eeh
Gwe weesiga y’akupangira, ooh
Gw’owakanira ennyo ennyo
Y’akubajja ku mugongo tebeesigwa, ooh
Kiki ekyakutabangula?
Nootafunamu ku ndowooza ndala
Kukoma kw’ebyo bye wankola, eeh!
Jjukira bye wali wasuubiza
N’ondayirira nti nno magombe
Mpozzi ge galitusattula, ooh!
Mpulira mmenyese mbikooye
Era nzikirizza ŋŋonze
Yandibadde omulala nga ssi gwe
Eyandekesa byonna mbe naawe
Kirabika ssirisiimibwa nze
Oba nga n’owange akaaye

Yakiyiye (yankutudde)
Tabirinako (eeh eh)
Yakyuse (yankutudde)
Yazize omulyo ooh
Yakiyiye eh (yankutudde)
Alaga tabirinako oh (eeh eh)
Namenyese (yankutudde)
Bino ssikyabiddako ooh

Nasigala ku mutego, eeh eh
Ng’owange y’antunze eddobo
Yandeka mu bisago
Ye yeeyagala ali eri ssebo
Bano basala bulago
Tobamalirako mwoyo gwo
Batutunda muwogo
Ng’obulamu bwo abulyamu enkoko
Teebereza gwe nabuulira
Buli kyama kyange ne nkisensula
Gyali teyansaasira, ooh
Kale nga yaŋŋumyagumya
Mbu ye wa njawulo ddala
N’ansaba omutima ne ngubikkula, eeh
Herbert Skillz pon deh one

Yakiyiye (yankutudde)
Tabirinako (eeh eh)
Yakyuse (yankutudde)
Yazize omulyo ooh
Yakiyiye eh (yankutudde)
Alaga tabirinako oh (eeh eh)
Namenyese (yankutudde)
Bino ssikyabiddako ooh

Double Kick
Yaled

Yankutudde!

ad

There are many feelings you might catch if you add this song to your daily, weekly, or monthly music playlist. Don’t forget to share with your friends.

Are you looking for a place to find the newest music lyrics, videos, entertainment news, instrumentals, and much more? We’ve got you covered here Mp3dealer.

Without further ado, check out this nice masterpiece, after that, share with your friends, we will love to hear your thoughts on the song,